Jeremiah 18

Olugero lw’Omubumbi n’Ebbumba

1Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti, 2“Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.” 3Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga. 4Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.

5Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, 6 a“Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?” bw’ayogera Mukama. “Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri. 7 bEkiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa, 8 cera singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola. 9 dEra ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba, 10 eera bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.

11 f“Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’ 12 gNaye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ”

13 hNoolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti,

“Mwebuuzeeko mu mawanga.
Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti?
Muwala wange Isirayiri
akoze ekintu eky’ekivve.
14Omuzira oguli ku Lebanooni
gwali guwedde ku njazi zaakwo?
Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala
gaali galeseeyoko okukulukuta?
15 iNaye ate abantu bange banneerabidde,
banyookezza obubaane eri bakatonda abalala,
abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe
era ne mu makubo ag’edda
era ne balaga mu bukubokubo.
16 jEnsi yaabwe ya kusigala matongo,
ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
era ne banyeenya emitwe gyabwe.
17 kNdibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe
ng’empewo eva ebuvanjuba;
ndibalaga mabega
so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”
18 lAwo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”

19Ompulirize, Ayi Mukama,
owulirize abampakanya kye bagamba.
20 mEbikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi?
Bansimidde obunnya.
Ojjukire nga nayimirira mu maaso go
ne nkaaba ku lwabwe,
nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.
21 nNoolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala,
obaweeyo battibwe n’ekitala.
Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu;
abasajja baabwe battibwe;
abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.
22 oLeka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe,
bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo,
kubanga bansimidde ekinnya bankwate
era bateze ebigere byange emitego.
23 pNaye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna,
bye bateesa banzite.
Tobasonyiwa byonoono byabwe
wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go.
Obawangulire ddala,
era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.
Copyright information for LugEEEE